KAMAPALA
Bya Ruth Anderah
Eyali minister omubeezi owabakozi Hebert Kabafunzaki olwaleero alabiseeko mu kooti ewuliriza emisango, gyobukenuzi nate nayegaana, emisango egyamuggulwako egyokufuna ekyojamumiro ekyobukadde Shs5m okuva ku musiga nsimbi.
Kabafunzaki, nomuyambi we Brian Mugabo ne Bruce Lubowa balabiseeko mu maaso gomuamuzi Margaret Tibulya okumanya omusango gwabwe wegutuuse.
Wabula okuwlirira omusango tekugenze mu maaso, olwabwaabi ba gavumenti ababdde betaaga yo akadde okwetereza okutandika emirimu oluvanyuma lwakediimo kebabaddemu, nga babanja okubongeza emisaala.
Kooti kati etaddewo olwanga 10th August, omusango lwegunaddamu okuwlirirwa.
Abasattu bano baweebwa okweyimirirwa, nga babalanga kulya nguzi okuva ku mugagga wa Aya Group of Companies, Mohammed Hamid eyobukadde 5 bwebaali bagala bamuyambe okutta emisango, gye egyokukabasanya omu ku bakozi be omwana owobuwala.