Poliisi ekyagenda mu maaso n’okwekenenya omulambo gw’omusajja ogusangiddwamu emisokoto gy’enjaga amakumi ana nga eweramu kitundu kya kilo.
Enjaga eno ebalirirwamu obukadde bwa siringi ebikumi bibiri ze doola za Amerika emitwalo mukaaga.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga omugenzi atemera mu gy’obukulu nga 45 omulambo gwe bwegwasangiddwa e Kiwawu mu disitulikiti ye Mityana nga y’abadde ayambadde kanzu y’ekisiraamu eya langi ya kitaka.
Akulira abasawo ba poliisi Moses Byaruhanga ategezezza nga omusokoto ogumu bwegwayabise enjaga neyingira mu misuwa gy’omugenzi ekyamuviriddeko okufa.
Ategezezza nga ono kati bwali omuntu owokuna okusangibwa nga afudde olw’enjaga mu myaka ekkumi nesatu gy’amaze mu busawo bwa poliisi nga abasatu bonna baali bagwiira era n’alabula abantu okwewala okukukusa ebiragalaragala bino.
Omulambo gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago gukyekebegyebwa.