Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okugyayo foomu z’okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wali ku kitebe ky’ekibiina ku luguudo lwe Kyaddondo.
Abakajjayo foomu zino kuliko omubaka wa Mawokota South Amelia Kyambadde, Singh Katongole ku kifo ky’omubaka wa Rubaga North, Juuko Nakalanzi Maria ku ka municipaali ye Masaka ne kansala w’abavubuka Adam Kyazze ayagala okusigukulula Muhammad Nsereko ku ky’omubaka wa massekati ga Kampala.
Wabula ssentebe w;akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM Tanga Odoi alabudde abantu abetala ku kitebe kyabwe nga batunda foomu z’okusunsulibwa enjingirire naddala nga balinze abava mu byalo.
Tanga Odoi era asuubira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni n’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okugyayo foomu z’okwesimba ku bwapulezidenti wiiki eno.