Skip to content Skip to footer

Amasanga gakwatiddwa

Poliisi eriko bokisi z’amasanga g’enjovu 48 gekwatidde ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe.

Amasanga gano gasangiddwa nga gazingiddwa mu kaveera nga kungulu kubikiddwako obubaawo.

Poliisi etegezezza nga amasanga gano bwegabadde gatwalibwa mu ggwanga lya Singapore nga gabadde gaakutikibwa ku nyonyi ya Kampuni ya Ethiopian airlines.

Aduumira poliisi ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe  Awita Lobvick  akyagenda mu maaso n’okuggula amabokisi gano omuli amasanga.

Leave a comment

0.0/5