Skip to content Skip to footer

KCCA eyimirizza ekivvulu kya Goodlyfe

Radio and weasel

Ababadde beesunga ekivulu kyaba  goodlife ekya maaso baakugira nga balindako okubiteekamu engatto.

KCCA eyimirizza ekivvulu kya bano lwabutaba na lukusa kutegeka kivvulu kino okuva eri KCCA.

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba amateeka okutegeka ekivvulu mu kampala malambulukufu bulungi kale nga atalina lukusa takkirizibwa kutegeka kivvulu kino nga mwotadde naba Goodlife.

Bano babadde bategese okutongoza olutambi lwaabwe olwa Amaaso akawungeezi kaleero.

Leave a comment

0.0/5