
Kkooti enkulu esingisizza Edson Wako omusango gw’okutta omuserikale wa poliisi John Michael Ariong during the 2012 walk to work riots.
Omulamuzi Elizabeth Alividza y’asingisizza Wako omusango guno oluvanyuma lw’abajulizi 2 okutegeeza nga bwebamulaba nga akuba omuserikale Ariong bulooka ku mutwe ku luguudo lwa Ben Kiwanuka .
Omulamuzi yesigamye ne ku bujulizi bw’okukebera endaga butonde emanyiddwa nga DNA eyasangiddwa ku bulooka eno eyatta omuserikale.
Essaawa yonna okuva kati ono bakumusalira ekibonerezo .