
Amagye g’eggwanga ag’omubbanga geeganye ebigambibwa nti gagoba abatuuze ku ttaka mu disitulikiti ye Nakasongola okusobola okuzimbako ekitebe ky’amagye gano.
Aduumira amagye gomubbanga ku ssomero ly’abajaasi b’eggye lino Maj Gen Joshua Masaba ategezezza nga ettaka eryogerwako eriwezaako obwagagavu bwa square mailo 20 lw’amagye okviira ddala mu myaka gyensanvu nga n’abaliko basasulwa dda.
Wabula Masaba agamba amagye gassa ekitiibwa mu dembe lyabannayuganda nga era abo bonna abaliriko mu butuufu bakusasulwa nga mpaawo gwebagenda kutwalaganya.