Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima akkakkanyizza emitima gy’abantu nti wandibaawo akavuyo oluvanyuma lw’akalulu k’omwaka ogujja
Kiddiridde okutya okutandise okulabika mu bantu nti ebintu byanditabuka mu kalulu akajja.
Okugumya kuno Aronda akukoze alayiza olukiiko oluggya olugenda okukola ku nsonga z’endagamuntu.
Aronda agambye nti ab’eby’okwerinda webali okulaba nti embeera teva mu mikono gyaabwe okudda mu gyabanakigwanyizi.
Olukiiko olunakola ku ndagamuntu lwakukulemberwa Judy Obitre Gama.
Bannayuganda obukadde 16 beebewandiisa okufuna endagamuntu zaabwe.
