
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kakunyizza aba minisitule ekola ku by’enguudo olw’okulwaawo okuzimba omwaalo gwe Bukasa
Okuzimba omwaalo kwaali kwakutandika omwaka oguwedde kyokka ebintu nebyesiba
Ng’alabiseeko mu kakiiko kano enkya ya leero, minisita omubeezi akola ku byenguuzo Steven Chebrot agambye nti bali mu lugendo lw’okufuna yiika 500 okuva ku b’ebibira kyokka ng’obuzibu buli ku besenza ku ttaka lino.
Kati akulira akakiiko Ephraim Biraaro alagidde nti bano bakole kyonna ekisoboka okulaba nti abantu basengulwa emirimu gitandike.