Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kya Uganda National Health Consumer’s
Organization kikoze ebikwekweto mwebayoledde abantu 3 ababadde banuusa sisha mu mabaala mu kibuga kye Mukono.
Abakwate bajidwa mu mabaala okuli Casablanca ne Hive nga bakwataganidde wamu ne poliisi.
Avunanyibwa ku by’obulamu mu kitongole kino Moses Kirigwajjo atubuliidde nti era baakutte pots za sisha 3, nga bakolera mu tteeka erya Tobacco Control Act, 2015.