Skip to content Skip to footer

Okubala abayizi mu Kampala kuwedde

File Photo: Abayizi mu kibiina
File Photo: Abayizi mu kibiina

Okubala abayizi mu masomero mu kibuga kampala kufundikiddwa era abakukoze bagamba kutambudde bulungi.

Omulimu guno ogumaze olunaku lumu gukoleddwa aba minisitule ekola ku byenjigiriza ng’ekigendererwa kumalamu bayizi ba mpewo mu masomero ga gavumenti.

Mu masomero nga Kololo High school, Old Kampala secondary school,n’amalala, aba minisitule tebasanze bizibu kubanga amasomero gabadde be failo.

Ku ssomero lya Kololo secondary school, omukulu okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza Eva Nattabi agambye nti ng’ojjeeko abasomesa obutagenda mu bibiina, tewali bayizi ba mpewo bebasanzeeyo.

Leave a comment

0.0/5