Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda batenderezza poliisi olw’engeri gyeyakuttemu Amama Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye olunaku lwajjo
Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano abakulembeddemu Benny Namugwanya bagambye nti baludde nga basaba poliisi obutakozesa lyaanyi ku bakulembeze era nga ku luno babawulirizza
Namugwanya agamba nti poliisi erina okufuba okulaba nti tekwata bubi beekalakaasa kyokka n’alabula poliisi mu kiseera kino eky’akalulu, bannayuganda beetaga emirembe.

Yye eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ayimirizza enteekateeka ze ez’okwebuuza ku bantu oluvanyuma lw’okufiirwa muganda we.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olweggulo lwaleero, Mbabazi wakusooka kukungubagira muganda we Enock Bahemerwabusha.
Mbabazi agambye nti amangu ddala ng’amaze okukungubaga, wakuwandiikira akakiiko akalondesa ng’akategeeza ku nteekateeka ze empya.
Ono asabye abantu be Mbale olw’okukola kyonna ekisoboka okulemera ku nsonga yadde okutiisibwatiisibwa kwabadde kungi.
Mbabazi bamukwatidde Njeru nebamuggalira kutuuka kiro nga bamulanga kuvvoola mateeka gakwata ku kukuba nkiiko.