Bya Sam Ssebuliba
Omusambi w’omupiira Geofrey Massa alula oluvanyuma lwa poliisi okuwerekereza emmotoka gyeyabaddemu n’omukazi amasasi.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima atutegezezza nti poliisi y’abadde erawuna e Namboole n’esanga emmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali eyabadde avuga n’agisimbula mu bwangu obwekitalo nebagyekengera.
Kayima agamba mu kwekengera emmotoka eno abaserikale baagikubye emipiira Josephine Malinza eyabaddemu n’alumizibwa wamu ne Massa era baddusiddwa mu clinic ye Ggwatiro.