Ebibiina ebivuganya gavumenti byekozeemu omukago byegutuumye Democratic alliance nga guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016.
Bano era bakaanyizza okutondawo akakiiko akeetongodde kalonde omuntu omu agenda okuvuganya ku bwa pulezidenti mu mwaka 2016 ne ku mitendera gyonna
Okusinziira ku kiwandiiko kyebagenda bonna okusaako emikono, bano baakukola gavumenti ey’ekaseera egenda okukola emyaka 5 gyokka , n’oluvanyuma okulonda okw’amazima n’obwenkanya kutegekebwe.
Twogeddeko ne Bishop Zac Niringiye omu kubategese kino ,natutegeeza nti mu kukola kino babade batuukiriza okusaba kw’abantu kuba kino kyebabade basaba.
Ababaddewo ku mukolo gw’okutongoza omukago guno kwekubadde Dr. Kiiza Besigye, Mugisha Muntu, owa UPC’s Dr. Olara Otunnu , owa DP Mathias Nsubuga, Betty Kamya owa Uganda Federal alliance, eyali akulira DP Paul Kawanga Semwogerere, eyali omumyuka wa pulezidenti Prof Gilbert Bukenya kko n’eyaliko Katikiro wa Buganda owek.Joseph Mulwanyammuli Semwogerere.