Eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti Nandala Mafabi asiimuddewo olugambo nti alina olutalo ku mukulembeze w’ekibiina mw’ava Maj Gen Mugisha Muntu
Mafaabi ayagala obwa ssabawandiisi w’ekibiina agamba nti okusuulawo emirimu gye kibiina tekaali kakodyo ka kulengezza bukulembeze bwa Muntu nga bangi bwebabyogera
Mafaabi agamba nti ayagala ekifo kino okusobola okunyweeza ekibiina kubanga alina obukugu mu kukunga abantu kko n’okuyigga ensimbi.
Mu ttabamiruka w’ekibiina atuula ku lw’okutaano, Mafaabi wakuvuganya Kasiano Wadri, Nabilah Nagayi ne Florence Ekwau.
