Poliisi e Misiri egamba nti esobodde okulemesa bbomu ebadde etegeddwa mu bimu ku bifo by’obulambuzi mu ggwanga lino.
Abasajja basatu ababadde besibye bbomu babadde batuuse ku mulyango kyokka nebabazuula mangu
Poliisi bano egezezzaako okubasemberera era omu ku bbo n’akasuka ekisibi kya bbomu ky’abadde yesibye , ow’okubiri nebamukuba amasasi agamusse ate ow’okusatu asobodde okudduka n’ebiwundu
Abantu ba bulijjo babiri beebalumiziddwa n’abapoliisi kyokka nga tewali mulambuzi atuusiddwaako obulabe