Skip to content Skip to footer

Abanywa enjaga bawanikibwe ku kalabba- Emidaali gigabiddwa

medals awarded

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozeza ekijukiro ekirala eky’abazira mu gombolola ye Ddwaniro esangibwa mu disitulikiti ye Kiboga.

Museveni olumaliriza bino n’ayolekera ku somero lya Katwe primary school emikolo emikulu gyegiri.

Mu kaseera kano okugaba emidaali kugenda mu maaso era nga kukulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine.

Mu bawereddwa emidaali mwemuli n’omubaka we Kabula James Kakooza, eyaleeta ekiteeso eky’okujjawo ekkomo ku bisanja.

Kagaba midaali gino, Elly Tumwine asabye abafunye emidaali okugissaamu ekitiibwa nga beeyisa bulungi

Ye  Ssentebe w’abazirwanako Hajji Edrisa Sseddunga wano asinzidde ku mikolo gino n’asaba nti wabeewo etteeka ekkakkali ku banywa endaga

Ono ayagala abantu abakwatibwa ngabatunda, okunywe oba okulina enjaga bawanikibwe ku kalabba.

Ono era asiimye pulezidenti Museveni olw’okusonyiwa banne bwebalwana mu nsiko okuli Gen David Sejjusa kyokka n’akuutira bannabyabufuzi obutayogera bingi nga bafunye obutakkaanya n’omukulembeze w’eggwanga

Leave a comment

0.0/5