
Ababodaboda abavuga ng’abeyuna eggulu bakyeremezza obubenje nga buli waggulu mu ggwanga.
Bano nno batwala ebitundu 50 ku kikumi ku bubenje obugwaawo.
Bino biri mu alipoota efulumiziddwa eb’ettendekero ly’ebyobulamu ku kasozi e Makerere.
Okusinzira ku alipoota eno, ebiwundu ebisinga abantu byebalina mu malwaliro okuli n’erye Mulago byekuusa ku bodaboda
Ku bantu bano abafuna obubenje, ebitundu 59 ku kikumi bafiirwa ebyaabweate nga abaweza ebitundu 41 ku kikumi balemera nebataddamu kwekolerera.
Omu ku baakola okunonyereza kuno Prof Nazarius Mbona asabye aba bodaboda okwongera okubeera abegendereza nga bali ku nguudo obubenje buno bwebuba nga bwakukendeera.