
Akakiiko akalondesa mu ggwanga kagumizza abantu nti obukonge bw’obululu obutuuse mu ggwanga bwakukuumibwa butiribiri.
Bino Kiggundu ebyogedde yakwakwasibwa obukonge buno obujjidde mu nyonyi okuva mu South Africa gyebwakubibwa.
Kiggundu agambye nti obululu obuweza tanni 67 buliko bifananyi by’abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga n’okukiika mu palamenti.
Obululu buno obuweza obukadde 16 bubadde busuubirwa ku ssaawa nnya kyokka nga butuuse zigenda mu ssaawa munaana.
Kiggundu agambye nti embeera y’obudde y’ekereyesezza embeera ng’enyonyi ebadde tesobola kusimbula
Kiggundu agambye nti obululu buno bwakukuumibwa bulungi era teri ajja kubutuukako.