Bazadde b’abaana bakiggala n’abalafubanira eddembe ly’abaana bano baagala gavumenti mu bukiika kkono ezimbeyo essomero lya secondary eryabakiggala basobole okweyongerayo n’emisomo gyabwe.
Bano bagamba eggwanga lifiirwa ebitono bingi ddala kubanga absinga ku bakiggala olumala okusoma pulayimale awo webakoma olw’okubulwa amasomero ga secondary agasobola okubasomesa mu ngeri gyebategeera.
Bino byonna binokoddwayo mu lukiiko olutegekeddwa ab’ekibiina kya Sign Health Uganda okufuna eky’okukolera abaana bakiggala mu bitundu bya West Nile abasinga gyebemulugunya nga bwebatafiriddwako.
Omukwanaganya w’ekibiina kino Stephen Eguma agamba abaana banji bakiggala bakoma mu pulayimale olwokubulwa essomero lya secondary eribali okumpi.