
Okuwulira omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nezitta bannayuganda abasoba mu 70 kuddamu olwaleero.
Bannamateeka b’enjuyi zombi basuubirwa okuwaayo okusaba kwabwe ku kya kkooti okukkiriza oba okugaana obujulizi obwawereddwayo omuserikale wa poliisi Moses Kato.
Olunaku lw’eggulo Moses Kato y’awadde obujulizi nga bweyawandiika sitetimenti y’omu ku bakwate Mohammed Ali era n’awandiika ne mu kitabo ky’abagenyi mu kkomera e Luzira.
Wabula mu kumusoya ebibuuzo, kyazuliddwa nga ono erinya lye bweritali mu bagenzi nga ye bweyategezezza.
Abantu 13 baakwatibwa nebagulwako emisango gy’obutemu, okugezaako okutta n’okuyamba ku batujju.
Omulamuzi Alfonse Owiny Dollo omusango guno y’aguli mu mitambo.