
Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru Sam Kutesa alabudde bannayuganda abagufudde omulimu okutondawo obubiina okufera bannabyabufuzi mu biseera by’okulonda.
Kutesa nga era ye mubaka w’e Mawogola bino y’abyogedde yebuuza ku balonzi ku kyalo Nambirizi.
Agamba nga okulonda kusembera abagezigezi batandikawo ebibiina bino n’ekigendererwa okukamula omusimbi okuva mu bannabyabufuzi n’ategeeza nga ebibiina bino bwebisanye okugasa abantu bonna sso ssi kubeera bafere.
Kutesa era awadde abalimi amagezi okwongera ku mutindo gw’ebintu byebafulumya bwebaba bakwongeza ku nyingiza mu maka gaabwe.