Skip to content Skip to footer

Bankuba kyeyo baakugasa e gwanga.

Bya samuel ssebuliba.

Banka enkulu eya Uganda etegeezeza nga bweyagala okulaba nga ensimbi eziva mu bankuba kyeyo bano abakolera ebunayira zitandika okugasa egwanga.

Mmukaseera kano buli mwaka bano baleeta mu uganda ensimbi eziweza akawumbi ka dolla kalamba, wabula nga zino zikola ku byakuzimba mayumba gaabwe, kusasula bisale byamasomero, kko n’ebirara ebitali byakuzizaazamu.

Kati bwabadde ayogerera mu tabamiruka waba nkuba kyeyo ategekeddwa wano ku Serena, Arnold Bagubwagye nga ono avudde mu bank enkulu eya uganda agambye nti kati baagala kulaba butya bano bwebayinza okufuuka bamusiga nsimbi mu uganda yatu eno.

Kati ono agamba nti mungeri yeemu baagala bano batandike n’okugula emigabo mu banka enkulu eya uganda kiyambeko mu kutebenkeza eby’enfuna by’e gwanga.

Leave a comment

0.0/5