Bya Shamim Nateebwa.
Agava wano ku kasozi kibuli galaga nga amyuka supreme Mufti Sheik Muhammad Kibaate bwasabye omukulembeze we gwanga okugaana okuteeka omukono ku bago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, wamu n’okweyongeza emyaka okuva ku etaano gifuule musanvu kubanga kino kyabulabe eri egwanga.
Bwabadde asaaza Juma ya leero, Sheik Kibaate agambye nti ababaka abeefula abawagira ebago lino tebalina bantu bebeebuzaako, kale nga omukulembeze we gwanga agwana abaswaze byebaasalawo naye abigobe.
Ono agamba nti egwanga lyonna mukaseera kano litudde kunkato, kale nga omukulembeze we gwanga yekka yagwana okukakanya embeera nga ateeka ekitiibwa mu semateeka amulagira okuwumula nga awezeza emyaka 75.
