Bya Magembe Ssabiiti
Abazadde nabayizi ku somero lya Mubende-Public-Modal P/S basobeddwa oluvanyuma olw’omuliro okusanyawo ekisula kyabayizi abalenzi
ebintu bya bayizi byonna nebisanawo.
Director we somero lino Magret Zziwa ategezeezza nti tebanazuula kivuddeko muliro guno, wabulanga batebereza nti wandibaawo omwana eyabadde asigadde mu kisulo nabaako byayonoona.
Ebintu byabayizi omuli ebitabo, engoye, ebyokulya nemifaliso byona bisanyewo.
Abazadde kati bategezeezza nga bwebatalina nsimbi
zakudamu kugulira baana era bandiwaliririzibwa okubatuuza awaka.