Bya Samuel ssebuliba.
Ekitongole ekikola ku by’amakomera kitegeezeza nga omwaka 2017 bwegutatabadde bubi gyebali kubanga basobodde okuzimba amakomera agawerere dala 30, kko n’okudabirizza agawerako.
Kinajukirwa nti mu kaseera kano uganda erina amakomera 290 gokka nga gano gegatereka abasibbe abawerera dala 55,784 abali mu gwanga.
Twogedeko n’ayogerera eby’amakomera mu uganda Frank Baine n’agamba nti amakomera agaamanyi gazimbiddwa gamba nga mu Packkwachi, Nebbi. Adjuman songa amalala gakyakolebwako.
Ono agamba nti mu kaseera kano kyebatadeko omulaka kwekulaba nga bakendeeza ku mujuzo mu makomera, nadala Luzira.