Skip to content Skip to footer

Abe’byokwerinda balabudde

Bya Ritah Kemigisa

Abalwanirira eddembe lyabakozesa Interenet mu kibiina kya Unwanted Witness Uganda bazeemu okulabula abebyokwerinda  bakomye okulinyirara eddembe lyabantu ku mitimbagano gya Internet.

Akulira ekitongole kino, Dorothy Mukasa agamba nti ebikolwa nga bino bitiisatiisa abantu atenga biri wabweru wamateeka.

Agamba nti wabaddewo okutya mu bantu naddala mu kabanga akayise.

Kati Mukasa asabye wabeewo obwangu mu kuwuliriza omusango ngwebatwala mu kooti eya ssemateeka nga bawakanya enyingo eya 25 mu tteeka erya Computer Misuse Act, 2011.

Bino abyesigamizza kungeri abantu ababadde bogera ku bwegugungo bwa FreeBobiWine gyebabadde babtisatisaamu.

Leave a comment

0.0/5