Bya Ivan Ssenabulya
Aba World’s Women Network bavumiridde okukwata obubi abantu.
Bino era babyesigamizza ku bwegugungo, obwaliwo wiiki ewedde, ngabantu babanja omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi ayimbulwe.
Omukwanaganya wemirimu mu kibiina kino, Rev Canon Nkesiga asabye ebitongole ebikuuma ddembe, bikolenga nga byolesa obukugu, nokussa ekitiibwa mu ddembe lyabantu.