Entiisa ebutikidde abatuuze be Byakabanda mu disitulikiti ye Rakai amayembe bwegatuze munaabwe negamutta.
Zaverio Matovu 70 omutuuze ku kyalo Kasabukengere y’atondose n’afa oluvanyuma lw’amayembe okumulinya ku jjoba olumwamuse n’afa.
Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Kasabukengere Daniel Mpagi , Matovu ono y’ali yagamba banne nga ebyekika bwebyamulagira agende abitereeze mu kyalo nabitwala nga ebyolubalaato nebimutabukira.
Wabula akawungeezi akayise yapondoose n’akunganya abamu ku benganda n’abatwala mu yekaalo y’ekika ebyekika nebimutemba era bigenze okumuvaako nga yakaze dda.
Abatuuze bagamba Matovu yandiba nga yagula amayembe g’obugagga negamulemerera negasalawo okumutta.
Ibin Ssenkumbi nga ye mwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga omuloambo gwamatovu baaguggye dda mu ssabo nebagutwala mu ggwanika okwongera okugwekebejja.