Omuwendo gw’abantu abaakafa ekirwadde ekitanategrekeka e Bukomansimbi gulinye okutuuka ku bantu 5.
Abaakafa ekilwadde kino kulikon Aisha Nabiddo, Jonathan Lukyamuzi n’omulalala atanaba kutegerekeka nga bonna bakukyalo Kamanda.
Abalala kuliko Stella Nanyonjo ow’emyaka 2 nemukuluwe Juliet Namulindwa 4 bonna nga bawala ba Edward Kayondo omutuuze ku kyalo Kiryamenvu mu gombolola ye Butenga.
Ssentebe wa disitulikiti ye Bukomansimbi Muhammad Kateregga agamba baategezezza dda minisitule y’ebyobulamu wabula tebanafuna kuddibwamu kwonna.
Dr Kato Alfred Tumusiime nga y’akulira ebyobulamu ku disitulikiti agamba abafudde bonna balina obubonero bw’omusujja gw’enkaka wabula bonna babakebedde nga tebalina musujja guno.