Abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo bakubiriziddwa okukwatira awamu okulwanyisa ekisaddaaka baana wano mu ggwanga.
Nga asabira emikolo gy’amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto, Omulabirizi w’obulabirizi bwe Namirembe Rt.Rv Wilberforce Kityo Luwalira aloopedde ssabasajja nga ekisaddaaka baana bwekisitudde enkundi.
Bisho Kityo Luwalira ategezezza nga abantu abamu bwebalemedde ku nzikiriza ezirimu okusaddaaka emiti emito ky’agamba nti kisobola okukoma nga bakwatidde wamu.
Wano w’asabidde abakulembeze b’ennono bonna okuvaayo bavumirire ebikolwa nga bino okutaasa abakulembeze ab’enkya.
Omulabirizi era asiimye nyo Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olw’obutakoowa kukunganya ttoffaali kuzza Buganda ku ntikko era n’alabula abaseketerera enkola eno.