Skip to content Skip to footer

Abe Kyambogo batikkiddwa

graduduation

Gavumenti emaliridde okuyingiza nga abayizi ababa batudde siniya ey’omukaaga mu yunivasite zaayo  zonna buli lusoma.

Mu biseera bino yunivasite za gavumenti ziwandiisa abayizi buli mwaka nga kino kivaako omugotteko naddala mu kwewandiisa.

Bwabadde ayogera ku matikira g’ettendekero lye Kyambogo minister w’ebyenjigiriza , Jessica Alupo ategezezza nga bwebalina okusomozebwa okuva eri amattendekero g’obwananyini go agatandika dda enkola eno.

Wabula agamba nga tebanatandika kun kola eno bakusooka kufuba kulaba nga badabulula amattendekelo gano mu bintu ebyenjawulo.

Abayizi abasoba mu 6713  bebatikiddwa zi degree, certificates ne diploma mu masomo agenjawulo.

Leave a comment

0.0/5