Bya Abubaker Kirunda
Omusajja gwebateberezza okubeera omubbi abatuuze ku kyalo Walukuba A aamutekedde omuliro.
Bino bibadde mu Walukuba-Masese Division mu district ye Jinja.
Okusinziira ku yerabiddeko Simon Muyaga ono bamufubutudde, nebamukuba, noluvanyuma nebamutekera omuliro nateta.
Poliisi etuuse nejjawo ebisigalira, nebitwalibwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Jinja.