Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Wairaka mu Kakira Town Council, bwebagudde ku mulambo gwomwana omuwala owemyaka 17 mu loogi.
Omuwala ono ategerekese nga Sylvia Naguju, omulambo gwe gusangiddwa mu bimu ku bisenge bya loogi.
Nanayini kisulo kino Jonathan Musene agambye nti beekengedde, oluvanyuma lwekisenge kye okutwala ebbanga nga kisbe, atenga babadde bagala kukismuula.
Kati bwebamenye oluggi basanze mulambo.
Wabula kitegezeddwa ngono bweyali yajja mu kisulo kino ne muganzi we ategerekeseeko erya Ronald Wabulindo.
Omudumizi wa poliisi ye Kakira David James Wamunyerere agambye nti bajeeyo omulambo, negutwalibwa mu gwanika ngokunonyereza kutandise.