Okukonziba mu baana byebimu ku bizibu ebisinga okutagaza ababundabunda okuva mu ggwanga lya South Sudan.
Okusinziira ku kitongole kya UNICEF abamu ku bayamba ku babundabunda bano, abaana 5 ku buli kikumi baakoziba olw’endya embi.
Omwogezi w’ekitongole kino Proscovia Nakibuuka Mbonye agamba ebbula ly’amazzi n’obukyafu byebimu ku bisinze okutawanya abali mu nkambi mu kitundu kye Elegu.
Wabula agamba kati abaana abali wansi w’emyaka 5 bakeberebwa okulaba oba ssibakonvubu.
Mungeri yeemu aba UNICEF n’ebitongole ebirala vali mu kawefube w’okusima nayikondo 5 mu nkambi ye Pagirinya mu disitulikiti ye Adjumani okuweweula ku beeno ku bbula ly’amazzi.
Okusinziira ku kitongole ekivunanyizibwa ku babundabunda mu nsi yonna, ababundabunda abasudani abasoba mu 14000 bebakesegga Uganda okuva nga 7 July nga era abasoba mu 90% bakyala nabaana.