Skip to content Skip to footer

Emisango gy’okusobya ku baana gyeyongedde e Mbale

abakwata abanaEmisango gy’obutemu n’okusobya ku baana abatanetuuka gy’emisango egikulembedde mwegyo omulamuzi David Mwangutusi gy’agenda okuwulira ekirindi e Mbale.

 

Nga aggulawo kkooti y’ekikungo omulamuzi Wangatusi ategezezza nti ku misango 40 gy’agenda okuwulira , 16 gyabutemu, 16 gyakujjula bitanajja, 6 gyakubbisa mundu sso nga okukwata abakazi gili 2.

 

Omulamuzi agamba abazadde balina okunenyezebwa kubanga bangi abaana baabwe abobuwala baabafuula kyabusuubuzi ekivuddeko agasajja ga ssedduvuutu okubegazanyizzako.

 

Disitulikiti okuli  Pallisa, Budaka, Mbale ne Manafwa  zezimu ku zifumbekeddemu emisanmgo gy’okusobya ku mabujje nga okusinga baana bali wansi w’emyaka 18 nga era abasomesa nabo befuulidde ddala mukoko mu kusobya ku bayizi baawe.

 

Leave a comment

0.0/5