Skip to content Skip to footer

Amasanyalaze gamukazizza

powerlines

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lwomu ku banaabwe okukubibwa amasanyalaze n’afa.

Abdullah Lubega 24 omutuuze mu kabuga ke Lwebitakuli y’akaliddewo oluvanyuma lw’okwanika olugoye ku waya y’amasanyalaze mu butanwa nga eno ebadde kumpi ne waya kwatera okwanika engoye.

Omukwanaganya w’abakozesa n’okusasanya amasanyalaze mu kitongole kya UMEME mu kitundu kino  Lt. Yafesi Tebayungwa ategezezza nga abantu banji mu kitundu kino bwebabbirira amasanyalaze nga basalinkiriza waya mu bifo ebikyamu.

Agamba abantu banji babba amasanyalaze gano nebateeka obulamu bwabwe mu katyabaga nga kyangu okubakuba.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza ensonga ezo n’ategeeza nga omulambo bwegutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.

Leave a comment

0.0/5