Endoolito ku ttaka okwali kutuula essomero lya Nabagereka Primary School zikyalanda.
Olwaleero akakiiko ka palamenti ak’enjawulo akateekebwawo okulondoola ekibba ttaka mu Kampala okuli n’eryamasomero, kayimirizza okuzimba kwonna ku ttaka lino oluvanyuma lw’okusanga ebizimbibwa ku ttaka lino.
Nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko, ba memba ku kakiiko kano balagidde KCCA okumenya ebyo byonna ebigenda mu maaso n’okuzimbibwa okutuusa nga enkaayana ku ttaka lino zigonjoddwa.
Wabula ye akola nga akulira eby’enjigiriza mu KCCA Prosper Lwamasaka ategezezza nga KCCA mpaawo kyemanyi ku bizimbibwa ku ttaka lino.
Abakakiiko kano kati boolekedde somero lya Nateete Muslim Primary school nga nalyo likaayanirwa.
