Abatembeeyi b’emmere abawerako bavunaniddwa mu mbuga z’amateeka , era nebaweebwa ebibonerezo.
Bano amakumi 20 nga bakulembeddwamu Babirye Hasifah basimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nebakiriza emisango gy’okutembeya nga tebafunye Lukusa okuva mu kitongole kya KCCA.
Amangu ddala g’okukiriza emisango, omulamuzi buli omu amuwadde ekibonerezo kyakumala mu kkomera e Luzira ennaku 40.
Bano bakwatiddwa ku 24th April 2017 okuva ku paaka enkadde, era nga mwabademu nabatambuza caayi, kawo , emberenge n’ebirala.