Bya Malikh Fahad
Poliisi mudistrict ye Sembabule eriko, abantu 2 bekutte abamu kwabo ababdenga betagibwa, ku byokubba namba plate ze mmotoka.
Abakwate ye Mudathir Walukaga ne Jamiru Muwonge nga bonna batuuze be Masambya, mu gombomola ye Katwe e Sembabule.
Kino kidiridde okubba namaba plate ya Pascal Mukooza, ngokujimudiza baamusabye emitwalo 10.
Wabula bano poliisi yabaodde okubalondoola, era nebakwatibwa.
Akulira poliisi ye Matete Baine Mugisha, ategezeza nga bano bwebakozesa amasimu agenjawulo, kwebasabira ssente, nga ku ssimu kwebayise okubafuna.