Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omusumba, agobeddwa ku kyalo nga bamulanga gwonoona batuuze.
Omusumba Joseph Luka akulira Deliverance healing ministry church, ku kyalo Bugonza mu gombolola ye Namugongo e Kaliro, bamulumiriza okusigula bakabasajja.
Abatuuze bagamba nti ono abaddenga asigula baka banne, nga yeyambisa okusaba okwekiro
Ssentebbe wa LC3 Henry Mukubira yakubirizza olukiiko, abatuuze mwebasaliddewo, nti ono ave ku kyalo agendeko ewalala.
Kitegezeddwa nti abakyala babaddenga, bagenda okusaba nebamalayo ne nnaku nga tebadda.
Wabula ye omusumba bwonna, ebimwogerwako agamebye nti ssi bituufu.