Bya Ruth Anderah,
Ngénteekateeka eyókulayiza abakozi ba gavumenti ezébitundu zikubye kkoodi, omuwandiisi wa kkooti, Sarah Langa Siu, alagidde abalamuzi bonna mu kkooti ento okuteeka ku mabbali bye babaddeko byonna okulaba nti entekateeka zino zitambula bulungi.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekitongole ekiramuzi kiwabudde abakulira abakozi ku zi disitulikiti okukwatagana nábalamuzi mu kkooti ento okukola kuntekateka ezokulayira abakozi bonna.
Okusinzira ku tteeka erya gavt ezebitundu Accirding enyingo eya 11 (8) abalamuzi bano baweebwa obuyinza okukulemberamu okulondebwa kwa sipiika wa disitulikiti.
Ekitongole ekiramuzi mu kiseera kino kirina abalamu ba kkooti ento 58 bokka nga bebalina okulayira abakozi ba gavt ezebitundu mu disitulikiti 146.