Skip to content Skip to footer

Kasibante ayanukudde Museveni-Sijja kusirika

Kasibante to luzira

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante ayanukudde omukulembeze w’eggwanga eyatisatisiza okumukwata.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni yalabudde omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, okwewala okweyingira mu nsonga z’okuzimba omwala gwa Lubigi.

Moses Kasibante agambye  nti wakungenda mu maaso n’okulwanirira abatuuze abasangibwa mu Kawala zone, abakoseddwa enyo okuzimbaomwala gwa Lubigi.

Kasibante agamba nti waliwo n’abatuuze abalina ebibanja mu Lubigi kyoka ng’ekitongole ky’amazzi kyagaana okubaliyirira.

Leave a comment

0.0/5