Skip to content Skip to footer

Rev. Kosea Odongo attikiddwa ng’omulabirizi w’e Soroti omugya

Bya Prossy Kisakye, Rev. Kosea Odongo ayawuddwa ng’omulabirizi omugya ow’essaza lye soroti

Emikolo gy’amatikira ge gikulembedwamu ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali ngayambibwako abalabirizi abalala 54 okuva wano n’ebweru w’eggwanga.

Ntagali akuutidde omulabirizi omugya okuwereza katonda obutakoowa ate mu buwombefu.

Odongo nga yemulabirizi wessaza lye soroti owomukaaga asikidde omulabirizi George William Erwau eyawumula.

Omulabirizi Odongo yeyamye okugata abakristaayo n’abakulembeze abamaze emyaka 3 nga bagugulana ku by’obukulu n’ebintu byekanisa.

Rev. Odongo yalangirirwa nga omulabirizi wesoroti omugya mu mwezi mwezi gwokubiri omwaka guno olukiiko lwa balabirizi.

 

Leave a comment

0.0/5