Skip to content Skip to footer

Ababbi banyaguludde ekyalo e Mpigi

Bya Sadat Mbogo

Abazigu abatannategerekeka, bazinzeeko akabuga k’e Buwama mu district y’e Mpigi, obudde nga busaasaana nebanyagulula ebintu ebitali bimu.

Mu bibbiddwa kubaddeko n’emotoka kika kya Premio number UAT 451/H, ngeno nesangiddwa mu luggya, lw’edduuka erisuubuza eddagala erya Lubowa Pharmaceuticals Limited.

Akulira ebikwekweto ku police ya Buwama, George Byaruhanga ategeezezza nga bwebamaze okukwatagana ne bambega n’abaserikale ba Flying Squad, okuzuula abazigu bano.

Ono agambye nti ababbi bano, bandiba nga beekukumye mu bitundu okuli Wakiso, Kampala, Masaka, Mbarara ne Kasese.

 

Leave a comment

0.0/5