Skip to content Skip to footer

Tewali nsimbi za bululu- Kiggundu

voting on

Ng’ebula emyezi kkumi gyokka okulonda omukulembeze w’eggwanga kubeewo, akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tekalina nsimbi zimala kutegeka kulonda kuno.

Akakiiko kano kalina eddibu kya buwumbi 70.

SSentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka.

Mu bitannaba kukolebwaako kuliko okusasula abanaakola ku kulonda n’okugatta ebinaava mu kulonda.

Kiggundu agamba nti nga tebafunye  ssente zino bayinza okwerekereza ebimu ku byeetagisa mu kulonda

Akulira akakiiko kano Stephen Tashobya agamba nti ensonga eno nkulu era ng’erina okukolebwaako nga bukyaali

Ebyo nga biri bityo

Ekibiina kya Democratic Party bazize ssente ezaabawereddwa akakiiko k’ebyokulonda okubayamba okutambuza kapampeyini mu kalulu ka 2016.

Omwogezi wa w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande agamba ssente zino ntono nnyo nga mpaawo kyeziyinza kubayamba mu kulonda okukubye kkoodi.

Kakande ategezezza nga bwebalina eby’okukola bingi nga kale obukadde 464 bussente butono era akakiiko k’ebyokulonda tekatawaana okuzibawa kubanga mpaawo mugaso kyebazirabamu.

Ono aweze nti yadde nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda agamba nti zatuuse dda ku akawunti y’ekibiina, tebagenda kukwatako yadde omunwe gw’ennusu.

Akakiiko k’ebyokuloda olunaku lweggulo kaagabanyizza obuwumbi 10 eri ebibiina ebirina ababaka mu palamenti okusobolam oklwetegekera okulonda kwa 2016.

Leave a comment

0.0/5