Eyali omukulembeze w’eggwanga lya Misiri Mohammed Morsi akaligiddwa emyaka 20 mu kkomera lwakutta bekalakaasi abaali bamuwakanya nga akyaali mu buyinza.
Guno gwegumu ku musango ogusinze Morsi kwejjo enkumuliito egigyamuvunanibwa.
Gavumenti ya Morsi y’avuunikibwa amagye mu July 2013 oluvanyuma lw’enkumi n’enkumi z’abantu okwekalakaasa nga bawakanya obukulembeze bwe.
Okuva olwo n’ekibiina kye ekya Muslim Brotherhood kyaawerebwa nga era n’abawagizi baakyo nkumi nankumi baakwatibwa nebaggalibwa.
Morsi ne banne bavunaanibwa okukuma omuliro mu bantu nebatta bannamawulire n’ab’oludda oluvuganya gavumenti wabweru w’olubiri lw’omukulembeze w’eggwanga mu 2012 nga aggwako.