
Eyesimbywewo ku lulwe ku bwapulezidenti Joseph Mabirizi ali mu nteekateeka zakutegeka kulonda okwokwegezaamu nga 12 olwokutaano luno nga eggwanga lyetegekera okulonda okutongole nga 18.
Mabiriizi ono agamba okulonda kw’ategeka kuli mu disitulikiti 8 okuli Kampala, Masaka, Mbale, Jinja, Mbarara, Hoima, Arua ne Gulu nga era ayagala buli yesimbyewo ku bwapulezidenti aweereze abanabakiikirira.
Mabiriizi agamba akakiiko k’ebyokulonda tekageza nekekiika mu nteekateekaye kubanga ayagala kulaga bantu ddala ebinava mu kulonda okutongole nga 18 omwezi guno.
Mabiriizi agamba ayagala kukakasa nti ddala obuuma bwebaleeta okukebera abalonzi bukola bulungi.
Sound:Mabirizi on mock Lug
wabula Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba tebanafuna kumanyisibwa kutongole kwonna ku nteekateeka za Mukulu Mabiriizi wabula nga bw’anabategeeza mu butongole bakumuwabula ekyokukola.