Bya Damali Mukhaye
Minisitule y’ebyobulamu yeralikiriddemu olw’ekirwadde kya Ebola okubalukawo ku muliraanwo mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo.
Ku mande abantu abenjawulo baafudde e Congo nga bano bebaliraanwa ba Uganda mu bugwanjuba.
Omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwiine agamba okuva bwekiri nti abakongo ne bananyuganda bayingira bwebafuluma amawanga gombi awatali agamba kale nga kyangu okuleeta kuno ebola.
Wabula ategezezza nti kati bongedde mu kukebera abantu bano ku nsalo wamu n’ekisaawe kyenyonyi okwanganga ekirwadde kino kikattira.