Skip to content Skip to footer

Tenda etabudde Abasubuzi b’omukatale k’e Kireka

KAsokoso

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu  basuubuzi bomu katale ke kireka oluvanyuma lw’ebiwayi bibiri okufuna obutakanya ku ani alina okufuna tenda y’okuddukanya akatale kano.

Ekiwayi kya Dan Mubiru  kilumbye aba Muzzanganda wasswa olwo nezidda okunywa ekiwalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okusobola  okukakanya embeera.

Dan Mubiru nga y’abadde ne Tenda eno yamugyidwako abakulira Division ya Kira  nebajiwa Muzzangada ekileesewo okutabuka.

Abawagizi ba Mubiru balumbye akatale kano bakeddize ku mpaka nebasanga aba Muzzanganda nga babalinze olwo ebifuba nebibabuguma okutuusa poliisi lw’ebiyingiddemu.

 

Leave a comment

0.0/5